Hosea 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nayogera eri abalanzi, okulabikirwa ne nkwongera obungi, ne mpita mu bo okwogera engero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gireyaadi butali butuukirivu era n’abantu baamu butaliimu. Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka, era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe waba nga waliwo obutali butuukirivu mu Gireyaadi, bwonna buliggwaawo; bwe baba nga mu Girugaali bassaddaaka ente ennume, ebyoto byabwe birifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakola ebibi mu Gilugaali, gye basalira ente ennume ez'ebitambiro, zaalutaari zaabwe zirifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gireyaadi butali butuukirivu? bo butaliimu bwereere; mu Girugaali gye basalira ente okuba ssaddaaka: weewaawo, ebyoto byabwe biri ng'ebifunvu mu mbibiro z'ennimiro: