Hosea 12:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga yeeyamba omulanzi Omukama yaggya Yisirayeli mu Misiri, ng'ayita mu mulanzi yamulabirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza, Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa, n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu asunguwazizza nnyo Mukama, omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, Mukama alibabonereza olw'okumunyooma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli basunguwazizza nnyo Mukama. Basaanira kufa, olw'emisango gye bazza. Mukama alibabonereza olw'okumunyooma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu asunguwazizza nnyo nnyini: omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, n'ekivume kye Mukama we alikimusasula.