Hosea 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efurayimu alunda mpewo, awondera mpewo y'ebuvanjuba olunaku lwonna, obulimba n'ettemu abyongera bungi. Akola endagaano ne Assuri, n'aweereza omuzigo e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alina ensonga ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri. Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alina ky'avunaana Yuda, era alibonereza Yakobo, ng'amakubo ge bwe gali; era alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alina ky'avunaana abantu ab'omu Buyudaaya, era ajja kubonereza Yisirayeli, olw'engeri abantu baayo gye beeyisaamu. Ajja kubasasula olw'ebyo bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alina empaka ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng'amakubo ge bwe gali; alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri.