Hosea 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alina ky'avunaana Yuda; ajja kubonereza Yakobo ng'agerera ku makubo ge; amusasule ng'asinziira ku bikolwa bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro, ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu lubuto, yakwata muganda we ku kisinziiro era bwe yakula n'ameggana ne Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjajjaabwe Yakobo yalwana ne muganda we Esawu, nga bakyali mu lubuto lwa nnyaabwe. Yakobo bwe yakula, n'alwanyisa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu lubuto yamukwata muganda we ku kisinziiro; era bwe yakula n'aba n'obuyinza eri Katonda: