Hosea 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu lubuto yakwata ekisinziiro kya muganda we, ng'asajjakudde yameggana ne Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yameggana ne malayika n’amuwangula, n’akaaba n’amwegayirira. Yamusisinkana e Beseri, n’ayogera naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yameggana ne malayika n'awangula, yakaaba amaziga n'anooya ekisa kye. Yasisinkana Katonda e Beseri, era eyo Katonda naayogera naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalwana ne malayika, n'awangula. Yakaaba n'asaba okumuwa omukisa. E Beteli, Katonda yasisinkana Yakobo, era eyo gye yayogerera naffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
weewaawo, yabanga n'obuyinza ku malayika n'awangula: yakaaba amaziga n'amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe;