Hosea 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe nno, dda eri Katonda wo n'obuyambi bwe; kuuma okwagala n'obutuufu, era suubira mu Katonda wo bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba, era anyumirwa okukumpanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusuubuzi, mu mikono gye nga mulimu minzaani ey'obulimba, ayagala okunyigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli si beesigwa. Bali ng'omusuubuzi akozesa minzaani eteri ntuufu, ayagala okunyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musuubuzi, minzaani ey'obulimba eri mu mukono gwe: ayagala okujooga.