Hosea 12:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasuubuzi bakozesa minzaani embi, baagala bulyake;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti, “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi. Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi wadde okwonoona kwonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu ayogedde nti, “Mazima ndi mugagga, nneefunidde ebintu bingi;” naye obugagga bwe bwonna, tebuyinza kuggyawo musango gwe yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bagamba nti: ‘Tuli bagagga, twefunidde ebintu. Tewali ayinza kutulumiriza nti twagaggawala mu bukumpanya.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu n'ayogera nti Mazima ngaggawadde, nneefunidde ebintu: mu kutegana kwange kwonna tebalindabako butali butuukirivu bwonna obwandibadde ekibi.