Hosea 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efurayimu agamba nti: “Nfuuse mugagga, neefunidde ebintu.” Newandibadde ku bugagga obwo bwonna, tasobola kuggyawo kibi kye yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri; ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate, nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze ndi Mukama Katonda wo, okuva mu nsi y'e Misiri; ndiddamu okubasuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ezatekeebwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndiddamu okubasuza mu nsiisira, nga ze mwalimu, bwe najja gye muli mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; oliboolyawo ne nkutuuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ey'okwewombeekerako.