Hosea 13:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efurayimu bwe yayogeranga, abantu nga bakankana; yagulumizibwanga mu Yisirayeli; naye yazza omusango ng'asinza Baali n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga. Yagulumizibwanga mu Isirayiri. Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu bwe yayogera, abasajja ne bakankana; yagulumizibwa mu Isiraeri, naye nnafuna omusango ogw'okusinza Baali, n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu kika kya Efurayimu bwe baayogeranga, ab'omu Bika ebirala mu Yisirayeli baakankananga. Abeefurayimu baatiibwanga. Naye nga bwe baayonoona nga basinza Baali, bajja kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu bwe yayogera, ne wabaawo okukankana; yeegulumiza mu Isiraeri: naye bwe yayonoona olwa Baali, n'afa.