Hosea 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wo aluwa akuwonye? Abakungu bo baluwa mu bibuga byo byonna, abo be wayogerako nti: ‘Mpa kabaka n'abakungu’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka wammwe ali wa, abalokole? Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa, be wayogerako nti, ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wo nno ali ludda wa, okukulokola; bali ludda wa abafuzi bo, okukulwanirira abo bewayogerangako nti, “Mumpe kabaka n'abafuzi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwasaba okubawa kabaka n'abakulembeze. Naye banaayinza batya okubawonya mmwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka wo nno ali ludda wa, akulokole mu bibuga byo byonna? n'abalamuzi bo be wayogerako nti Mpa kabaka n'abakungu?