Hosea 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibanunula mu mikono gy'emagombe. Walumbe, ekikato kyo kiruwa? Magombe, okuzikiriza kwo kuluwa? Ekisa kya kukisibwa amaaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe, era ndibalokola mu kufa. Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa? Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? “Sirimusaasira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibanunula eri amaanyi ag'emagombe? Ndibagula okuva eri okufa? Ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? Ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? Okusaasira kukwekeddwa okuva mu maaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sirinunula bantu bano mu magombe, wadde okubawonya okufa. Ggwe Walumbe, leeta ebibonyoobonyo byo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndibanunula eri amaanyi ag'amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? okwenenya kulikwekebwa amaaso gange.