Hosea 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efurayimu ne bw'aliyala mu baganda be, empewo y'ebuvanjuba erifuuwa, omukka gw'Omukama gulifuuwa okuva mu ddungu, ne gukaza ensulo ze, ne gukaliza enzizi ze; gulireka eggwanika lye nga gulinyazeemu buli kya bugagga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bw’anaakulaakulana mu baganda be. Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama, ng’eva mu ddungu, n’ensulo ze ne zikalira, n’oluzzi lwe ne lukalira. Eggwanika lye lirinyagibwa, eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, nze Mukama ndisindika embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, okuva mu ddungu, n'ekaza enzizi zaabwe, ensulo ye n'eggwaawo, erinyaga eby'obugagga byonna ebisanyusa ebyaterekebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bwe baliba obulungi mu baganda baabwe, nze Mukama ndisindika embuyaga ey'ebuvanjuba eva mu ddungu, n'ekaza ensulo zaabwe n'enzizi zaabwe. Erimalawo ebyobugagga byonna bye baatereka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, omukka gwa Mukama ogulinnya okuva mu ddungu, oluzzi lwe ne lukalira, ensulo ye n'eggwaawo: alinyaga ebibya byonna ebisanyusa ebyaterekebwa.