Hosea 13:16 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe kubanga bajeemedde Katonda waabwe. Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa, n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samaliya alibaako omusango, kubanga ajeemedde Katonda we, baligwa n'ekitala, abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Samariya bajja kubonerezebwa olw'okujeemera nze Katonda waabwe. Bajja kufiira mu lutalo. Abaana baabwe abawere bajja kutirimbulwa, n'abakazi abali embuto bajja kubaagibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samaliya alibaako omusango gwe; kubanga ajeemedde Katonda we: baligwa n'ekitala; abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.