Hosea 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate kati bongera kukola bibi, beekolera ebifaananyi bya balubaale ebisaanuuse mu ffeeza waabwe, ebifaananyi bya balubaale bye bakoze n'obukugu; byonna wamu omukozi y'abikoze. Bagamba nti: “Bino bye muba mutambirira!” Abantu ne banywegera obuyana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne kaakano bongera okwonoona; ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe, ng’okutegeera kwabwe bwe kuli, nga byonna mulimu gw’abaweesi. Kigambibwa nti, “Bawaayo ssaddaaka ez’abantu, ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, n'ebeekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ebifaananyi ebikoleddwa n'amagezi mu ffeeza yaabwe, byonna mulimu ogw'omukozi ow'amagezi. Muweeyo ssaddaaka eri bino, bwe boogera, abasajja banywegera ennyana!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, nga bakola mu byuma ebisaanuuse, ebifaananyi nga bya kusinza. Bakola ebifaananyi mu ffeeza, ebiyiiyizibwa amagezi g'abantu, era ebikolebwa abantu. Awo ne balyoka bagamba nti: “Mubiwe ebitambiro.” Abantu bayinza batya okunywegera ebifaananyi bino eby'ennyana?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kaakano beeyongerayongera okwonoona, era beekoledde ebifaananyi ebisaanuuse ne ffeeza yaabwe, esanamu ng'amagezi gaabwe bo bwe gali, zonna mulimu gwa mukozi: bazoogerako nti Abasajja abasala ssaddaaka banywegere ennyana.