Hosea 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo baliba ng'olufu lw'oku makya, ng'omusulo ogukeera okuggwaawo, ng'ebisusunku ebikuŋŋunsibwa okuva mu gguuliro, ng'omukka ogufulumira mu ddirisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya, oba ng’omusulo oguvaawo amangu, ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro, oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo kyebaliva babeera nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali nkya, baliba ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zifuumuula okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguyita mu kituli ne gufuluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo abantu bano, baliggwaawo nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali nkya. Baliba ng'ebisusunku, embuyaga y'akazimu by'eggya mu gguuliro n'ebitwala, era ng'omukka, oguyita mu kituli, ne gufuluma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyebaliva babeera ng'ekire eky'enkya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali, ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zitwala okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguva mu kituli ogufuluma.