Hosea 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze Mukama Katonda wo okuva lwe wali mu nsi y'e Misiri, tewamanyaayo Katonda mulala okuggyako nze; tewaali abawonya mulala okuggyako nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri; so tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wabula nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi mulala okuggyako nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Temulina Katonda mulala, wabula nze. Nze Mulokozi wammwe nzekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wazira nze.