Hosea 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nzija kubabuukira ng'eddubu erinyagiddwako obwana bwalyo, nzija kubataagula ebifuba byabwe, nzija kubakavvula ng'empologoma, ensolo ey'ettale ejja kubayuzaamu wabiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo, ndibalumba ne mbataagulataagula. Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo, ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibagwako ng'eddubu ennyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza ne mbikkula amabeere gaabwe, era eyo ndibalya ng'empologoma; ng'ensolo ey'omunsiko bwe yandibataaguddetaagudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibalumba ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, ne mbayuzaamu. Ndibataagulataagula ng'ensolo ey'omu ttale, era ndibaliirawo ng'empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndisisinkana nabo ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza olubiko olw'oku mutima gwabwe: era ndibaliira eyo ng'empologoma; ensolo ey'omu nsiko eribataagula.