Hosea 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Yisirayeli, dda eri Omukama Katonda wo; ebibi byo byakuleetera okugwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mudde eri Mukama nga mwogera ebigambo bino nti, “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, otwanirize n’ekisa, bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugende n'ebigambo era mudde eri Mukama, mumugambe nti, “Ggyawo obutali butuukirivu bwaffe bwonna, okkirize ebirungi, naffe tunawaayo ekibala eky'emimwa gyaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujje nga muteeseteese okwegayirira kwammwe, mudde eri Mukama, mumugambe nti: “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, osanyukire ebirungi, tulyoke tusobole okukutendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mutwale ebigambo wamu nammwe, mukomewo eri Mukama: mumugambe nti Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky'omu mimwa gyaffe, ng'ente ennume.