Hosea 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugende n'eby'okwogera eri Omukama; mumugambe nti: “Ggyawo ebibi byaffe byonna; kkiriza ekirungi; tunaakuweereza ebibala by'emimwa gyaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwasuli tebusobola kutulokola; Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo. Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’ nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe, kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asuli talituwonya; tetulyebagala mbalaasi; so tetuligamba nate, ‘Katonda waffe,’ eri emirimu gye mikono gyaffe. Mu ggwe bamulekwa mwebafunira okusaasirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Assiriya teyinza kutuwonya, era tetujja kwebagala mbalaasi za lutalo. Bye twakola n'emikono gyaffe tetukyaddayo kubiyita Katonda waffe, kubanga ggwe okwatirwa ekisa abo abatalina abayamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asuli talituwonya; tetulyebagala embalaasi: so tetuligamba nate mulimu gwa mikono gyaffe nti Mmwe muli bakatonda baffe: kubanga eri ggwe atalina kitaawe gy'alabira okusaasirwa.