Hosea 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Assuri tajja kutulokola, tetujja kwebagala mbalaasi. Tetujja kugamba gwa kubiri nti: ‘balubaale baffe’ ku ebyo emikono gyaffe bye gikoze; kubanga enfuuzi mu ggwe mw'esanga okusaasirwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi, ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula. Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndiwonya obutali butuukirivu bwabwe; ndibaagala mu ddembe, kubanga obusungu bwange bukyuse ne bubavaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndikomyawo abantu bange gye ndi. Ndibaagala n'omutima gwange gwonna, kubanga sikyabalinako busungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndiwonya okudda kwabwe ennyuma, ndibaagala ku bwange: kubanga obusungu bwange bukyuse okumuvaako.