Hosea 14:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nzija kuwonya obujeemu bwabwe; nzija kubaagala nga bwe njagala, kubanga obukambwe bwange bubavuddeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri: alimulisa ng’eddanga, era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndiba ng'omusulo eri Isiraeri; alimulisa ng'eddanga, era alisimba emirandira gye nga Lebanooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndinnyikiza Abayisirayeli ng'enkuba bw'ennyikiza ettaka. Balyanya ng'ebimuli, balisimba emirandira mu ttaka, ng'emiti gy'oku Lebanooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndiba eri Isiraeri ng'omusulo: alimulisa ng'eddanga, era alisimba emizi gye nga Lebanooni.