Hosea 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli nzija kumubeerera nga ssuulwe; alyanya ng'ekimuli ky'eddanga, alisimba emirandira ng'entolookyo z'oku Lebanoni,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amatabi ge amato galikula; n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni, n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amatabi ge galyagaagala, obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amatabi gaabwe galyagaagala, ne banyirira ng'omuti omuzayiti. Baliwunya akawoowo, ng'emiti egy'oku Lebanooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amatabi ge galiranda, n'obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni.