Hosea 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obutabi bwe obuto bulitojjera. Ekitiibwa kye kiriba ng'eky'omuti gw'oliva, n'akawoowo ng'ak'entolookyo z'oku Lebanoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye, era alibala ng’emmere ey’empeke. Alimulisa ng’omuzabbibu, era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balikomawo n'ebabeera wansi w'ekisiikirize kyange, baligimuka ng'ennimiro, ne bamulisa ng'omuzabbibu, akawoowo kaabwe kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikomawo ne babeera mu kisiikirize kyange. Balyanya ng'eŋŋaano, ne bamulisa ng'omuzabbibu. Balyatiikirira ng'omwenge ogw'e Lebanooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ababeera wansi w'ekisiikirize kye balikomawo; balirama ng'eŋŋaano, ne bamulisa ng'omuzabbibu: akawoowo ke kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni.