Hosea 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu balidda ne batuula mu kittuluze kye; balibala ng'eŋŋano, balyanya ng'emizabbibu, ettutumu lye liriba ng'ery'evviini ya Lebanoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo? Ndimwanukula ne mulabirira. Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu, kiki kyenina okukola ne ebifaananyi? Nze nkuddamu era ne nkunoonya. Ninga omuberosi omugimu, okuva gye ndi ebibala byo gy'ebiva.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli tebaliddayo kusinza bifaananyi: nnaabawanga bye bansaba, era nnaabalabiriranga. Nnaabawanga ekisiikirize ng'omuti ogutaggwaako makoola. Nze nsibukamu emikisa gyabwe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu alyogera nti Nkyafaayo ki eri ebifaananyi? Nze njitabye, era ndissaayo omwoyo eri ye: nninga omuberosi omugimu; ebibala byo birabika okuva gye ndi.