Hosea 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efurayimu, ebifaananyi bya balubaale okyabyagaza ki? Nze nkwanukula era nze nkulabirira. Nninga sipulaasi bulijjo aba addugazza, okubala kwo kuva ku nze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalina amagezi bategeera ensonga zino, era abakabakaba balibimanya. Amakuba ga Mukama matuufu, n’abatuukirivu bagatambuliramu, naye abajeemu bageesittaliramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli alina amagezi ategeere ebintu bino; buli alina okwawula, abimanye; kubanga amakubo ga Mukama matuufu, era abatuukirivu baagatambuliramu; naye abajeemu bagesittalako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalina amagezi bategeere ebyo, era babyekkaanye, kubanga Mukama by'akola bituufu, era abantu abakola ebituufu banaabigobereranga. Naye aboonoonyi baneesittalanga ne bagwa, kubanga tebabifaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani alina amagezi n'ategeera bino? ani alina obukabakaba n'abimanya? kubanga amakubo ga Mukama ga nsonga, n'abatuukirivu banaagatambulirangamu; naye abasobya banaagwanga omwo.