Hosea 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyokka abantu ba Yisirayeli mu bungi baliba ng'omusenyu gw'ennyanja, ogutalina kipimo, ogutagenda kubalibwa. Mu kifo we baagambirwanga nti: ‘Temuli bantu bange’, we balibagambira nti: ‘Baana ba Katonda omulamu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugambe baganda bammwe nti, “Ami,” era mugambe bannyinammwe nti, “Lukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mugambe baganda bammwe nti: “Bantu bange”, ne bannyinammwe nti: “Mbakwatirwa ekisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugambe baganda bammwe nti Ami: era mugambe bannyammwe nti Lukama.