Hosea 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyamanya nti nze namuwanga eŋŋano, evviini n'omuzigo; eyamugabuliranga ffeeza ne zaabu, gwe baamalira ku Baali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kyenaava nyanika obukaba bwe mu maaso ga baganzi be, so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, era tewaliba amuggya mu buyinza bwange kumuwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kaakano naayolesa obukaba bwe baganzi be nga balaba, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange.