Hosea 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno nzija kwedddiza eŋŋano yange ng'etuuse, n'evviini ensu obudde bwayo nga butuuse; nzija kuggyayo ebyoya by'endiga n'engoye za kitaani ebyange, ebibadde bibikka ku bwereere bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka, n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne Ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe okutukuvu kwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikomya ennaku ze enkulu n'embaga ze eza buli mwezi n'eza buli mwaka, n'okukuza Sabbaato n'enkuŋŋaana ze zonna ez'eddiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe kwonna okutukuvu.