Hosea 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwanika obugwagwa bwe mu maaso ga baganzi be; tewali alimunzigya mu mikono gyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye, gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’ Ndibizisa, era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti, Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde, era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti: “Gino ye mpeera yange, baganzi bange gye bampadde.” Ndigizisa, era ensolo ez'omu ttale zirigirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde: era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya.