Hosea 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukomya okujaguza kwe: okw'embaga enkulu, Okuboneka kw'Omwezi, Sabbaato n'embaga ze enkulu eziragiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimubonereza olw’ennaku ze yayotereza obubaane eri Babaali, ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo, n’agenda eri baganzi be, naye nze n’aneerabira,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndimubonereza olw'ennaku z'embaga za Baali, ze yayotererezangamu obubaane; ne yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimubonereza olw'ekiseera kye yamala ng'anneerabidde, ng'ayotereza Baali obubaane era nga yeewoomya n'empeta ez'omu matu n'ebyobuyonjo, n'agenda ne baganzi be. Mukama ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimubonereza olw'ennaku za Babaali be yayoterezanga obubaane; bwe yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be, ne yeerabira nze, bw'ayogera Mukama.