Hosea 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kumubonereza nga mmulanga ennaku za Baali, lwe yanyookezanga obubaani, ne yeewoomya n'empeta n'amagemo, olwo n'awondera baganzi be, nze ng'anneerabidde,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu, ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli oluggi olw’essuubi. Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe, era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nga tuli eyo, ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu, era ndifuula ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu nga mu nnaku ez'omubuto bwe, era nga mu nnaku ze yaviiramu e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nga tuli eyo, ndimuddiza ennimiro ze ez'emizabbibu. Ekiwonvu eky'Emitawaana ndikifuula oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu okumpulira nga bwe yakolanga mu nnaku ez'omu buvubuka bwe, mu kiseera kye yaviiramu e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu nga nnyima eyo, n'ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira: era aliyima eyo okuddamu nga mu nnaku ez'obuto bwe, era nga mu nnaku lwe yalinnya okuva mu nsi y'e Misiri.