Hosea 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo gye nzija okumuweera emizabbibu gye, n'ekiwonvu kye Akori ndikifuula mulyango ogw'essuubi; eyo gy'alyanukulira nga bwe yayanukulanga mu buvubuka, na luli lwe yava mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke, so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa mannya gaabwe nakatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ndiba sikyamukkiriza kwogera wadde okwatula erinnya Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa amannya gaabwe.