Hosea 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo,” Omukama y'agamba, “olimpita nti: ‘Baze.’ Toliddamu kumpita nti: ‘Baali wange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyewalula ku ttaka, era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi, bonna ne batuula mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwo ndiragaana endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu ebyewalula ku ttaka, biremenga kukola kabi bantu bange. Era ndiggyawo omutego, n'ekitala n'entalo okuva mu nsi, era ndibaleka ne mugalamira mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ezo ndikola endagaano n'ensolo ez'omu ttale n'ebinyonyi era n'ebyewalula, biremenga kukola kabi ku bantu bange. Era ndiggyawo omutego gw'obusaale n'ekitala n'ebyokulwanyisa ebirala byonna mu nsi, ne mbaleka mubeere mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olwo ndibalagaanira, endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu eby'ettaka ebyewalula: era ndimenya omutego n'ekitala n'olutalo okuva mu nsi, era ndibagalamiza mirembe.