Hosea 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amannya ga Babaali nzija kugaggya ku mumwa gwe; era amannya gaabwe tegaliddamu kukoowoolwa nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikwogereza obe wange ennaku zonna; weewaawo, ndikweyogerereza mu butuukirivu ne mu mazima, ne mu ku kusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuwasa ggwe Yisirayeli, n'oba mukazi wange ennaku zonna. Ndikulokola ne mba mwenkanya gy'oli. Ndikulaga ekisa ne nkusaasira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikwogerereza ennaku zonna; weewaawo, ndikwogereza mu butuukirivu ne mu musango ne mu kisa ne mu kusaasira.