Hosea 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo, ndyanukula eggulu,” Omukama y'agamba, “nalyo ne lyanukula ensi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndimwesimbira mu nsi, ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa, era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’ era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndimwesigira mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti, ‘Mmwe muli bantu bange,’ nabo balyogera nti,‘ Ggwe oli Katonda wange.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditeeka Abayisirayeli mu nsi eno, era ndisaasira abo abaali batasaasirwa, era abo abaayitibwanga “Abatali bange” ndibagamba nti: “Muli bantu bange”. Nabo baligamba nti: “Oli Katonda waffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimusiga gye ndi mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti Mmwe muli bantu bange; nabo balyogera nti Ggwe oli Katonda wange.