Hosea 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mugambe baganda bammwe nti: ‘Bantu bange’, ne bannyinammwe nti: ‘Asaasiddwa’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nneme okumwambulira ddala ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa; ne mmufuula ng’eddungu, ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa, ne mmussa ennyonta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nneme okumwambula, ne muleka bwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nneme okumwambula, okumuleka obwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nneme okumwambulira ddala, ne mmuteekawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalirwa, ne mmufuula ng'eddungu, ne mmuteekawo ng'ensi enkalu, ne mmussa ennyonta;