Hosea 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muvunaane nnyammwe, mumuvunaane, kubanga ye si mukazi wange, nange siri bba; aggye entunula ye ey'obwamalaaya ku maaso ge, n'obutambuze abuggye mu makkati g'amabeere ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sirilaga kwagala kwange eri abaana be, kubanga baana ba bwenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
weewaawo, n'abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana be siribakwatirwa kisa, kubanga nnyaabwe mwenzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
weewaawo, abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi.