Hosea 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sikulwa nga mmwambula ne mmuleka bwereere nga bwe yazaalibwa; ndimufuula ng'eddungu, ndimufuula ng'ensi enkalu, ndimussa ennyonta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyabwe yakola obwenzi, n’abazaalira mu buwemu. Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi, n’ebimbugumya n’ebyokwambala, n’amafuta n’ekyokunywa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi; eyabazaala yawemuka, bwe yayogera nti,‘Ndigenda ne baganzi bange abampa emmere, n'amazzi, ebyoya by'endiga n'obugoogwa, amafuta n'eby'okunywa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyaabwe oyo omwenzi eyawemuka, yagamba nti: “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n'amazzi, engoye ez'ebyoya by'endiga n'ez'enjaaye, omuzigo n'ebyokunywa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi: eyabazaala yawemuka: kubanga yayogera nti Ndigoberera baganzi bange abampa emmere yange n'amazzi gange, ebyoya byange n'obugoogwa bwange, amafuta gange n'ebyange ebyokunywa.