Hosea 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaana be sijja kubasaasira, kubanga baana ba bwamalaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa, ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ndiziba ekkubo lye n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba w'ayita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ekkubo lye, ndiriteekamu amaggwa ne ndiziba, era ndikola olukomera abulwe w'ayita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ndiziba ekkubo lyo n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba empitiro ze.