Hosea 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ekkubo lye nzija kulisuulamu emisanvu egy'amaggwa, nzija kumwetoolooza olukomera abulweko w'ayita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano, ne wayini n’amafuta, era eyamuwa effeeza ne zaabu bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga teyamanya nga nze n'amuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'omuzigo, era nga nze namuwanga ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye baaweerezesa Baali.