Hosea 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliwondera baganzi be, naye tagenda kubatuuka; alibanoonya, naye talibazuula; awo aligamba nti: ‘Ka nzireyo eri musajja wange eyasooka, kubanga olwo nali bulungi okusinga bwe ndi kati.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde, ne wayini wange ng’atuuse; era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo, bye yayambalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne mmuggyako ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange n'omwenge mu kiseera eky'amakungula, era ne mmuggyako n'engoye ez'ebyoya by'endiga, n'ez'enjaaye ze namuwa okwambala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva nkomyawo eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne nziyawo ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze.