Hosea 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Ddamu oyagale mukazi wo, newandibadde ng'ayagalibwa muganzi we era nga mukazi mwenzi. Mwagale ng'Omukama bw'ayagala Abayisirayeli, newandibadde nga baakyukira eri balubaale, ne baagala ebitole by'emizabbibu emiwotose.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe omulala, era nga mwenzi, nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obukoleddwa mu zabbibu enkalu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda nate, oyagale omukazi omwenzi alina muganzi we, omwagale nga nze bwe njagala Abayisirayeli, newaakubadde nga bakyukira balubaale, ne baagala obugaati obukoleddwa mu mizabbibu emikalu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe, era omwenzi, era nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala ebitole by'ezabbibu enkalu.