Hosea 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Abayisirayeli balimala ennaku nnyingi nga tebalina kabaka oba omufuzi yenna, nga tebalina kitambiro, oba ejjinja ettukuvu, oba efodi oba bulubaale obw'awaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abaana ba Isiraeri balimala ekiseera kiwanvu nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira, wadde omukulembeze, era nga tebalina ssaddaaka, newakubadde empagi, era nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Abayisirayeli balimala ekiseera kiwanvu nga tebalina kabaka wadde omukulembeze, nga tebalina kitambiro wadde empagi entukuvu, nga tebalina bifaananyi bikozesebwa mu kulagula, wadde balubaale ab'omu maka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Isiraeri balibeerera awo ennaku nnyingi nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira so nga tebalina ssaddaaka so nga tebalina mpagi so nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi: