Hosea 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Abayisirayeli balidda ne banoonya Omukama Katonda waabwe, ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja nga bakankana eri Omukama n'eri ebirungi bye mu nnaku ez'oluvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja mu kutya eri Mukama n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oluvannyuma Abayisirayeli balikyuka ne badda eri Mukama Katonda waabwe. Era mu nnaku ez'oluvannyuma, balijja eri Mukama nga batya, ne bafuna ebirungi, Dawudi Kabaka waabwe by'agaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja eri Mukama nga batya n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma.