Hosea 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi bantu ba Yisirayeli, muwulire ekigambo ky'Omukama, kubanga Omukama abavunaana, mmwe abasula mu nsi; tekyali bwesigwa, teri kisa, mu nsi temukyali na kumanya Katonda;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri, kubanga Mukama abalinako ensonga mmwe abatuula mu nsi. “Obwesigwa n’okwagala Katonda, n’okumumanya bikendedde mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri,” kubanga Mukama alina empaka n'abantu abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde ekisa, era tewali kumanya Katonda mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli muwulire Mukama ky'agamba, kubanga Mukama alina ky'avunaana abantu abali mu nsi eno. Tewali mazima wadde ekisa, era abantu tebamanyi Katonda mu nsi eno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri: kubanga Mukama alina empaka n'abo abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde okusaasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi.