Hosea 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bange beebuuza ku balubaale ab'ebiti, era ne baanukulwa ekiti mwe baakolebwa, kubanga omwoyo omwenzi gubawubisizza; ne basuula eri Katonda waabwe okudda mu bwamalaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bange beebuuza ku kikonge ky’omuti, ne baddibwamu omuti. Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bange beebuuza ku bintu eby'emiti, era n'omuggo gwabwe bibabuulire ebya Katonda, kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era balese Katonda waabwe ne bagenda mu bwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bange beebuuza ku kitiititi, omuggo gwabwe gwe gubabuulira kye baagala okumanya. Bakoze ng'omukazi omwenzi: banvuddeko nze Katonda waabwe, ne beewaayo mu balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bange beebuuza ku kikonge kyabwe, n’omuggo gwabwe gwe gubabuulira: kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era bagenze nga benda okuva wansi wa Katonda waabwe.