Hosea 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batambirira ku ntikko z'ensozi, ne bookera obubaani ku busozi, wansi w'emivule, enzibaziba n'emyeramannyo awali ekisiikirize ekirungi. Bwe batyo bawala bammwe bwe bakola obwamalaaya, ne bakaabaana bammwe bwe bakola obwenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi, ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi, wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera awali ekisiikirize ekirungi. Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya, ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti: Emivule, Emiribine n'Emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: abawala bammwe kyebaava beefuula abenzi, era n'abagole bammwe benda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Basalira ebitambiro ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti emiwanvu n'emyagaagavu, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi. “Abaana bammwe abawala kyebava beefuula bamalaaya, ne bakazi bammwe ne benda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emyalooni n'emiribine n'emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: bawala bammwe kyebava beefuula benzi, n'abagole bammwe benda.