Hosea 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye sijja kubonereza bawala bammwe nga bakoze obwamalaaya, ne bakaabaana bammwe nga bakoze obwenzi, kubanga abasajja bennyini beeseebulula ne bamalaaya, ne batambira wamu ne bamalaaya b'omu biggwa; abantu abatategeera ba kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Siribonereza bawala bammwe olw’okubeera bamalaaya, newaakubadde baka baana bammwe okukola eby’obwenzi, kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya, ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo; abantu abatategeera balizikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde abagole bammwe bwe bakabawala; kubanga abasajja bennyini mudda wabbali n'abakazi abenzi ne muweerayo ssaddaaka n'abenzi b'omu biggwa, era abantu abatalina kutegeera balizikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula bamalaaya, wadde bakazi bammwe bwe beefuula abenzi, kubanga mmwe mwennyini mudda wabbali awamu n'abakazi bamalaaya ab'omu masabo, ne muweerayo wamu nabo ebitambiro. Abantu abatategeera balizikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde bagole bammwe bwe bakabawala; kubanga bo bennyini beeyawula n'abakazi abatambuzi: n'abantu abaategeera balisuulibwa.