Hosea 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oba ggwe, Yisirayeli, okoze obwamalaaya, ka Yuda ye aleme kubeera na musango. Temugenda Gilugali, Temwambuka Beti-Aveni; tolayira nti ‘Mazima Omukama nga mulamu,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda, omusango guleme okuba ku Yuda. Togenda Girugaali, newaakubadde okwambuka e Besaveni. Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga weefuula omwenzi, Ggwe, Isiraeri, leka Yuda aleme kusingibwa musango. Temuyingiranga mu Girugaali, wadde okugenda e Besaveni, so temulayiranga nti, “ Nga Mukama bw'ali omulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Newaakubadde mmwe Abayisirayeli temuli beesigwa gye ndi, naye ab'omu Buyudaaya baleme kusobya nga mmwe. Temusinzizanga Gilugaali, wadde e Betaveni. Era temulayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe, Isiraeri, newakubadde nga weefuula omwenzi, naye Yuda aleme okusobya; so temujjanga e Girugaali, so temwambukanga e Besaveni, so temulayiranga nti Nga Mukama bw'ali omulamu.