Hosea 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ennyana ey'emputtu, ne Yisirayeli bw'akola emputtu, Omukama anaabalunda atya ng'endiga mu malundiro amagazi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima ng’ennyana endalu. Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'enduusi endalulalu, Isiraeri mulalulalu; kaakano Mukama asobola okubaliisa ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli babambaavu ng'ente enduusi. Kale nze Mukama nnaabaliisa ntya ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Isiraeri akoze eby'obukakanyavu ng'ente enduusi enkakanyavu: kaakano Mukama alibaliisa ng'omwana gw'endiga mu kifo ekigazi.